Wuuno omusomesa wa pulayimale annyonnyola engeri gyayimirirawo
Abamu ku basomesa ba primary bakyakukuluma olwa gavumenti obutabalowoozako nga eyongeza emisaala sso nga nabo basomesa n’amasomo ga sayansi . Betty Nandutu nga Musomesa ku Buganda Road primary school y’omg ku bakise ensingo nti n’ekisinga okumuluma kwekusomesa abaana baababalala nga ababe kizibu okubatwala mu masomera amalungi olwomusaala omutono. Gavumenti ekyakalambidde ku kyokwongeza abasomesa ba sayansi mu secondary okutuuka ku bukadde buna ekyajje abasomesa abalala mu mbeera nebateeka wansi ebikola.