WARAGI MU DISITULIKITI Y’E MOROTO :Ebiddomola 128 biyiiriddwa
Poliisi mu bitundu by’e Moroto ebidomola by'omwenge gwa waragi ebiwera 128 byeyiiye nga ekigendererwa kukendeeza ku bannywi ba waragi n'obungi bwe mu kitundu kino. Ekitundu kino ekya Karamoja kigambibwa kyekimu ku ebyo ebisinga okunywebwamu waragi , bo abebyokwerinda gwebagamba nti afuuse nawabulabe eri abantu abawangaalira wano.
Bano bagamba nti n'ekika kya waragi kino sikyekirina okunnywebwa abantu.