Waliwo owa SFC abatuuze gwe balumiriza okwezza ettaka
Wabaluseewo enkayana wakati w’abatuuze b’e Kinyogoga mu district ye Nakaseke n’e munnamagye ow’ekibinja ekikuuma omukulembeze we ggwanga ekya SFC Maj. Georgeous. Kandiho nga ziva ku ttaka. Abatuuze balumirizza Maj. Kandiho okuleeta amagye ku ttaka kwebalundira nebatandika okubatiisatiisa n’ekigendererwa eky’okubasengula okulivaako songa baliwangaliddeko ebbanga ddene ng’anabaku kwebazalibwa. Kyoka Maj Kandiho agamba nti ettaka lino yalipangisizza okulirundirako ente okumala omwaka mulamba, ono eby’okuleeta amagye aby’egaanye ng’agamba bamusibako mattu gambuzi kumuliisa ngo.