Waliwo ekika kya kaawa omupya ekitongozeddwa ku katale
Amyuka Katikkiro ow’okubiri Wagwa Nsibirwa akunze bannayuganda naddala abali mu bulimi bw’emmwanyi okufaayo ennyo okwongera omutindo ku kirime kino okusobola okukifunamu. Nsibirwa agamba eno y’engeri yokka egenda okugaziya akatale mpozi n’okusitula ebyenfuna. Ono abode atongoza ekika kya Kaawa eyakoeddwa omu ku balimi mu disitulikiti ye Lyantonde.