Waliwo basatu be batemyetemye, kuliko abagwira babiri
Ku kyalo kye Nakasozi Buddo, abatuuze baguddemu ensisi oluvannyuma lw’abantu abatannategeerekeka okulumba ekifo ekimanyidda nga Hedge Garden agamu nebatemateema abantu basatu okuli ne bannansi beggwanga lya Uruguay. Poliisi etubuulidde nga bwekyagezaako okuzuula ebisingawo ku bikwata ku bantu abaateemeddwa wabula ng’egamba nti mu kiseera kino bajjanjabirwa mu ddwaliro e Lubaga.