Tusosolebwa: Abanyarwanda beekubidde enduulu ewa sipiika
Ab’eggwanga lya Banyarwanda abazaalibwa kuno olwaleero batutte okwemulugunya kwabwe eri sipiika wa palamenti Anita Among nga balumiriza nti ebitongole eby'enjawulo biyitirizza okulinyirira eddembe lyabwe. Bano balumiriza nti bangi tebalina Ndaga-muntu ne passipooti nga bibammibwa nga balangibwa obutabeera bannayuganda, kyokka nga nzaalwa za kuno abalambikiddwa ne mu ssemateeka. Sipiika Among ensonga za bano aliko kakiiko ka palamenti kaazikwasizza kazinoonyerezeko ng'okubuuliriza ku bitongole ebyogerwako bwe kukolebwa.