TTABAMIRUKA WA DP:Mao asabye Lulume ne Ssebamala bakomewo
Minisita w'ensonga za Ssemateeka era nga y'e Pulezidenti w'ekibiina ki Democratic Party, Norbert Mao ategeezeza nga bwaali omweteefuteefu okukkaanya ne banne bwebababadde bavuganya ku kifo kino Okuli Richard Ssebamala ne Lulume Bayiga okumalawo obutakkaanya bwonna. Ono agamba bakweyambisa abakulu mu bwakabaka bwa buganda okubatabaganya.