SSENTE ZZAMMWE WEEZIRI: Minisita Kasaija agumizza bannassaayansi
Ateekerateekera minisitule y’ebyensimbi Ramathan Ggoobi ategeezezza nga gavumenti bwetaddewo obuwumbi 400 mu mbalirira y'omwaka gw'ebyensimbi ogujja nga zakwongeza misaala gy’abasawo. Ggoobi asinzidde mu lukungaana lwabannamawulire nategeeza nti ensimbi zino era ziriko n'emisaala gy'abasomesa ba sayansi mu kiseera kino abali mu keediimo. Abakola emirimu egyenjawulo mu malwaliro ab’egattira mu kibiina ki Allied Health Professional Association batandise akeediimo olunaku olweggulo olw’embeera embi mwebakolera nga n'omusaala omutono mwogutwalidde