SSENTE EZAASASULWA BANNYINI TTKA: Bannamateeka n’abafamire bakubaganidde empawa mu kakiiko
Bannamateeka ba Lubega Buzibera and company advocates bakubaganye empawa ne mukoddomi wa namukadde Natalia Namuli ku ky'okumuliyirira ensimbi obuwumbi obubiri ku ttaka lye erye Kagadi. Bwabadde alabiseeko eri akakiiko akalondoola ebitongole bya gavumenti ka COSASE, munnamateeka Richard Buzibira agambye nti ebyogerwa Natalia nti teyasasulwa byabulimba kubanga yatunda obwananyini bwe ku ttaka lino naweebwa ensimbi obukadde 318. Wabula Peter Amara mukodomi wa Natalia Namuli agambibwa nti yeyamutwala ewa Buzibera ategezezza akakiiko nga munnamateeka ono bwalimba kubanga baava ewuwe nga mpaawo nusu ebawereddwa.