PAASITA EYABULA N’ABANTU: Waliwo poliisi betamanyi gye bali
Poliisi e Mityana etubuliidde nti ekyakunya omusajja eyeyita omusumba, abannyonnyole wa gye yatwala abantu abakyasigaddeyo kw'abo beyali abuze nabo. Pastor Samuel Kalibbala yakwatiibwa ku Lwokutaano oluvannyuma lw'abantu abaali basabira mu kanisa ye okulawo kyokka nga naye takyakubwako kyamulubaale. Abatuuze mu kitundu Kalibbala gyeyali asumbira batubuliidde nti abaddenga abasuubiza eby'amagero bingi omuli n'okuzuukiza abantu naye nebimulema