Omuyizi mu siniya ey’okusatu yeetuze
Abatuuze ku kyalo Lusanja ekisangibwa mu ggombolola y’e Bulera mu disitulikiti y’e Mityana baguddemu ensisi oluvannyuma lw’okusanga omwana wa mutuuze munnaabwe nga yeetuze. Omuwała eyeetuze abadde asoma siniya yaakusatu era bino byaguddewo akawungeezi k’eggulo essaawa nga emu. Okwetuga, nnyina yabadde amutumye kyokka gye yamutumye teyakomyewo. Poliisi etandise okunoonyereza okuzuula ekyaviiriddeko omuwala ono okwetuga.