OMUSANGO GUKANDAALIRIRDDE NNYO! Kkooti esazeewo okuwozesa Ssewanyana ne Ssegirinya kutandike
Oludda oluwaabi lulemereddwa okuwaayo obujulizi bwerugenda okusinziirako okuluma ababaka Allan Ssewanyana, Mohammad Ssegirinya n'abalala bebavunaanwa nabo eri kkooti enkulu ewozesa emisango egyanaggomola. Kino kiyamba kkooti okusalawo oba nga egenda mu maaso n'okukakasa emisango eri abavunaanibwa. Abawaabi ba Gavumenti Richard Birivumbuka ne Joseph Kyomuhendo bategeezezza kooti nga bwebataasobola kugenda kwogerezeganya n'abajulizi babwe e Masaka nga bwekyalina okuba omwezi oguwedde, olw'obutafuna nsimbi engeri omwaka gw'ebyensimbi bwegali gugwaako. Bano babadde baagala omulamuzi ayongereyo omusango guno ekintu kyagaanye.