Omulimu gw'okusima amayinja tegulondoolwa nnyo, abagukola bali ku lwabwe
Oluvannyuma lw’abantu bataano okufiira mu kirombe ky’amayinja e Namulanda - Kajjansi ku luduudo oludda Entebbe, kitegeerekese nti ennondoola y’omulimu gw’okusima amayinja mu birombe ekyali nnafu nnyo ekiteeka obulamu bw'abakola omulimu guno mu matigga. Abakola mu birombe bino mu bitundu eby’enjawulo okwetooloola Kampala ne Wakiso bangi ku bo tebalina bye bambala okwetangira singa wagwawo akabenje. N’abobuyinza abatuufu abalina okulondoola omulimu guno batankanibwa.