Omulabirizi Moses Banja: Atuuziddwa mu butongole
Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe omugya Rt. Rev. Moses Banja asabye gavumenti okugonjoola ensonga y’ekibba ttaka eyongedde okulinya enkandaggo mu ggwanga. Okusinziira ku Banja, ekiba ttaka ekimaamidde eggwanga tekitalizza kkanisa ng’abantu abeegwanyiza ettaka ly’ekkanisa balibba kyeere. Banja bino abyogedde nga kyagye atuuzibwe ng’omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe ow’omukaaga ng’omukolo ogw’okumutuuza guyindidde ku lutikko e Namirembe.