Omukwano gwa Kyabazinga ne Innebantu Mutesi : baba yankuba akaama
Kyabazinga wa Busoga william Gabula Nadiope IV asabye abantu bonna mu bwa Kyabazinga bwa Busoga olukulembeza obumu kisobozese ekitundu kyabwe okuvvuunuka ebizibu mwekitubidde. Kyabazinga bino yabwogeredde ku mbaga ye ne Inebantu Jovia Mutesi mu lubiri lwe Igenge gyayasemberezza abagenyi ab’enjawulo akawungeezi k'eggulo.