OKWETEGEKERA EZ’OKUSUNSULA: Bana basaliddwako ku ttiimu y’abakyala eya Basketball
Abazannyi bana beebasaliddwako ku ttiimu y'eggwanga ey'abakyala ey'omuzannyo gwa Basketball eyitibwa the Gazelles. Wabula ye Kapiteeni wa ttiimu eno, Flavia Okecho wetwogerera nga naye yeegasse ku bazannyi 15 abali mu nkambi nga beetegekera empaka z'okusunsula abanaazannya eza Africa, ezitandika ku lw'okubiri lwa wiiki ejja mu Indoor Arena e Lugogo. Empaka zino zigenda kwetabwamu ensi ttaano omuli Uganda, South Sudan ne Rwanda. #