OKWEKEBEJJA EDDAGALA: Uganda erinnye eddaala
Uganda kati esobola okwekenneenya eddagala erikozesebwa mu bulamu obwabulijjo okukakasa oba ddala lituukagana n'omutindo ogwetaagisa. Kino kiddiridde okutongoza ekifo oba laboratory emazeewo obuwumbi busatu nga eteekeddwamu ebyuma eby’omulembe. Minisita w'ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng bwabadde atongoza ekifo kino ekisangibwa e Mulago, agambye nti kuno kugenda mu maaso kwamaanyi era kyakuwonya abantu okuweebwa eddagala eritatuukiridde.