Okwaniriza omusinga: E Kasese basiibye mu ketereerekero, atuuka nkya
Olunaku lw'enkya Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere lwagenda okudda e Kasese oluvannyuma lw'emyaka egikunukkiriza mu musanvu nga talinnyayo. Wabula Kitegeerekese nti Omusinga kati waakukuumibwa amagye ga UPDF agakuuma abakungu mu kifo ky’abakuumi be abayitibwa Abalindi oba Royal Guards. RDC wa Kasese Joe Walusimbi yatubuulidde ku by'obukuumi bw'omusinga ngayogera ku ngeri gyebetegekedde okudda kw'omusinga. Ali Mivule ali Kasese.