OKUYAMBA KU BASOMESA: Buli musomesa wakuweebwa emitwalo kkumi
Waliwo ekiwandiiko okuva mu minisitule ey’ekikula ky’abantu ekinnyonyola nga abasomesa ab’amasomero g’obwanannyini aga primary ne secondary bwe bagenda okuweebwayo emitwalo gya sillingi 10 buli omu okuva mu gav’t bazikozese ku byetaagisa eby’amangu okusoma bwe kunaaba kuzzeemu wiiki ejja. Abasomesa bano kiteeberezebwa bali eyo mu mitwalo amakumi asatu kyokka tekirambikiddwa ddi sente zino ze bagenda okufunira ku masimu gaabwe lwe zigenda kutandika kugabibwa.