OKUTUNDA N’OKULYA EMPUUTA :Waliwo abaagala kuwerebwe mu Uganda, ababaka babigaanye
Bannanyini makampuni agatunda ebyenjanja ebweru wa uganda baagala Palamenti ewere okulya n'okutunda empuuta wano mu ggwanga Bano bagala empuuta zonna ezikwatibwa mu mazzi ga Uganda zitundibwe emitala w'amayanja, okusobozesa eggwanga okufunamu ensimbi eziwera.Kyoka ababaka ku kakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku bulimi, obulunzi n'okuvuba, okusaba kuno bakugaanye.