OKUTUMBULA EBY’OBUJJANJABI: Nabbanja ayagala bannansi bakwasizeeko gavumenti
Ssaabaminisita wa Uganda Robina Nabbanja yasimbudde emisinde mubunabyalo egitegekebwa kampuni y’ebyempuliziganya eya MTN egimanyiddwa aga MTN Marathon n’asaba bannayuganda okukwasizaako gavumenti okutumbula eby’obulamu.Emisinde gy’omulundi guno giddukiddwa n’ekigendererwa eky’okukwasizaaki amalwaliro okutumbula obujjanjabi eri bw’abaana abato.