Okutulugunya abalonzi mu kalulu, akakiiko k’eddembe kakyatubidde n’emisango 1000
Akakiiko akalwanirira eddembe ly'obuntu ka Uganda human rights commission bagamba okulwawo okuwuliriza emisango gy'abantu be bazze batulugunya egiviira ddala mu 2016 kibadde kiva ku embalirira yaabwe okuba entono ennyo nga tebasobozesa kukola ku misango gyabwe.Bano batubuulidde nti bakyatubidde n'emisango egisobo mu lukumi kyokka nga n'okulonda okulala okuzze kubaawo, waliwo emisango egizza giwaabwa.Mingi ku gino tukitegedde nti gyazibbwa bakuuma-ddembe.