Okusuula endagamuntu:Waliwo gwe kyaviirako emitawaana
Oluvannyuma lw’emboozi gye twakulaze eggulo eya Saleh Mukwanga eyabulwako endagamuntu ye n’etuuka okukozesebwa okuggulawo kampuni okufera abantu ensimbi ezisukka mu buwumbi 3 mu b bitundu bye Bugiri, mu mboozi yaffe eyookubiri tugenda kukulaga Hamza Ssennyonga omu ku baanyagibwako obukadde obuwera 10 nga abaakikola b’ebo abaakozesa endagamuntu ya Saleh Mukwanga. Ssenyonga yeevaamu n’aloopa ku poliisi etuuke okukwata Saleh Mukwanga n’okumulemesa okudda e Dubai okukuba ekyeyo. Ssennyonga alombojja engeri gye yabbibwamu n’abantu abalala abawera mu bitundu by’e Bugiri.