Okusunsula abeegwanyiza ebifo ku lukiiko olufuzi olwa CEC mu NRM kukomekkerezeddwa
Daudi Ruhinda Magulu abadde ayagala okuvunganya Yoweri Museveni okukwatira NRM bendera ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga agobeddwa akakiiko k'ebyokulonda aka NRM olw'obutaba na byetaagisa okusunsulwa. Ono abadde talina mikono kuva mu disitulikiti 151 ezeetaagisa abaagala bendera y'ekibiina ku bukulembeze bw'eggwanga. Olwaleero okusunsula bonna abeegwanyiza ebifo ku lukiiko olufuzi olwa NRM lwekukomekkerezeddwa Mubasunsuddwa leero mwemubadde ne Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among ayagala ekifo Kya Amyuka Ssentebe w’ekibiina ki NRM owabakyala.