Okusaanyawo obutonde: Entobazi e Mubende ziggwawo
Ebitundu 40 kubuli kikumi eby’entobazi mu district y’e Mubende bisanyizIddwawo nga kino kireeseewo okutya eri abakulembeze kubiseera eby’omumaaso. Tutegezeddwa nti embeera eviiriddeko ebintu eby’obutonde bingi okusaanawo nga waliwo n'ekimu ku bika by’ekinyonyi n'ebisolo ebitalabikalabika Mubende byeyafiirwa lwakusanyawo ntobazi mwebyali biwangaalira. Abavunanyizibwa ku kuuma obutonde bwensi e Mubende bagamba nti basanze okusomozebwa kw’obutaba nabikozesebwa bimala okulwanyisa omuze ogw’okusanyaawo obutondebwensi.