OKUNYWEZA EBY’OKWERINDA: Ku ddwaliro lya Busia Health Center IV obukuumi bwakweyongera
Oluvannyuma lwa babbi okuyingirira eddwaliro lya Busia health center iv nebanyagulula ebintu mu waadi y'abakyaala ab'embuto ku ntandikwa ya wiiki eno, abakulembeze ba disirtict ye Busia kati basitukiddemu okunyweza ebyokwerinda ku ddwaliro. Tutegeezeddwa nti bagenda kuzimba ekikomera ku ddwaliro nokuteekawo kamera enkessi okusobola okutangira ekikolwa ekyaliwo obutaddamu.