OKULWANYISA OBUTUJJU: Kadhi w’e Luweero atandise okuwandiika ba Imam
Abakulembeze b’obuyisiraamu mu district y’e Luwero batandise okuwandiisa ba iman ne ba maseeka bonna mu district eno n’ekigendererwa eky’okumanya ebibakwatako n’okulondoola byebakola okwewala okukola ebikyamu. Kadhi wa Luwero Sheikh Mulindwa abuulidde omusassi waffe Herbert Kamoga nti akimanyi buluungi nti eriyo abantu abetuuma amanya g’obuyisiraamu kyoka nga tebamanyi wadde Quran bwebagibikkula era n’ebeyambisa emizikiti okutuukirizza ebigendererwa byabwe. Kino kiggidde mu kiseera nga Poliisi egenda mu maaso n’okukola ebikwekweto ebyenjawulo okufuuza abateberezebwa okuba nga balina kyebamanyi ku bbomu ezizze zitegebwa nga mu kiseera kino baakakwata abantu 106 omuli ne ba imam.