Okulwanyisa obumenyi bw’amateeka: E Busia bafunye ku buwerero
Abatuuze mu kitundu kya Arubaine mu Busia bafunye ku buwerero okuva polisii lweyatandika okukwata abamu ku bamenyi b'amateeka ababadde bafudde ekifo kino ekibondo ky'ababbi. Gyebuvuddeko NTV yakulaga emboozi nga ab'eno balajaana nga bwebasusse okukolebwako ebikolobero abavubuka ba kalifujjo. Waliwo n'abazze bafa olw'okulumbibwa nga agavubuka gano.