OKULWANYISA EBIJAMBIYA: RDC w’e Wakiso asabye bassentebe bawandiise abatuuze
RDC we Wakiso Justine Mbabazi asabye ba ssentebe b’ebyalo bawandiise abantu abali mu bitundu byabwe mu kaweefube w’okufuuza abebijambiya abasitudde enkundi mu bitundu by’e Wakiso ne Kampala. Ono ngali wamu n’aduumira Poliisi ya Kampala n’emiriraano Steven Tanui babadde basisinkanye abatuuze b’omu Kyengera Town Council okwongera okulaba engeri y’okufuuza ab’ebijambiya.