OKULONDOOLA EBY’OKUZIMBA : Gavumenti etongonza enkola y’okumutimbagano
Minisita w’ebyenguudo n’entambula Gen. Edward Katumba Wamala atongozza enkola ey’okukakasa n’okuyisa plan z’abantu abagenda okuzimba ebizimbe nga bakikolera ku mutimbagano mu kifo ky’okutambuza empapula n’okugenda mu mawoofiisi.Enkola eno esuubirwa okumalawo ebizimbe ebibadde bizimbibwa nga tebiriiko plan ne bituuka n’okugwa wamu n’okumalawo enguzi ebadde mu by’okuyisa plan z’abazimba.