OKULIWA ABALUMBIBWA EBISOLO: Ababaka baakuleeta ennongoosereza mu tteeka
Ababaka ku kakiiko ka palamenti ak’ebyobusuubuzi n’obulambuzi beeweze okukola enongoosereza mu teeka ly'ebisolo by'omunsiko okusobola okwanguyizaako abantu abakosebwa obulumbaganyi bw'ebisolo by'omunsiko okuliyirirwa. Kiddiridde bano okulambula abantu abazze balumbibwa ebisolo by'omunsiko mu bitundu ebiriraanye amakuumiro okuli Queen Elizabeth ne Lake Mburo.