OKUKWATIRA NRM BENDERA: Museveni aggyeyo empapula okusobola okwesimbawo
Pulezidenti Yoweri Musevei era nga ye ssentebe w'ekibiina ki NRM agamba nti wakussa essira ku kulwanyisa enguzi n'okulaba ng'eggwanga likulaakulana mu kisanja ekiddako singa addamu okulondebwa. Olwaleero ono ngawerekeddwako mukyala we Janet Museveni aggyeyo empapula ku kifo ky'a ssentebe w'ekibiina kino mu ggwanga n'ezokukikwatira bendera ku kifo ky'omukulembeze weggwanga mu kalulu ka 2026. Bannakibiina naddala abavubuka okuva mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo bakedde kuyisa bivvulu nga bagenda ku kitebe ky'ebyokulonda ekyekibiina kino okubaawo ngabajulizi ngomukulembeze waabwe aggyayo empapula