Ab’ekibiina ki NUP basisinkanye e Gomba okusala amagezi
Ab’ekibiina ki NUP mu bitundu bye Gomba nabo bali mu kusala ntotto ku ngeri y’okukunga n’okunyweza obuwagizi bw’ekibiina mu disitulikiti eno Olunaku lw’egggulo bano abaakulembeddwa omubaka wa Gomba East Godfrey Ssaazi ne Ssentebe wa NUP mu disitulikti eno baasisinkanye bannakibiina okulaba engeri gye bagenda okutambuza enteekateeka eno Ensonga y'okunyweza obumu mu bannakibiina n'okukuuma akalulu byebimu ku byabadde ku mwanjo mu nsisinkano eno.