Okukwata paasipooti za bankubakyeyo: Kkampuni ezibatwala ku kyeyo ziriko bye zitangaazizza
Ekibiina omwegattira kkampuni ezitwala abantu ku byeyo ebweru w'eggwanga ki Uganda Association of External Recruitment Agencies kitangaziza ku mbeera eviirako kampuni ezenjawulo okukwata pasipota z'abantu bano nga tebannasindikibwa kukola. Akulira ekitongole kino Stuart Oramire agamba nti embeera eno oluuusi ejja singa kkampuni eteekamu ssente zonna ez'okutwala omuntu okukola ebweru kyokka n'amala neyeekuba. Eggulo gavumenti yalabudde kkampuni zino ku ky'okukwata pasipooti z'abantu era nebalagira bazibaddize.