OKUKUZA AMATIKKIRA: Ab’e Buluuli tebalekeddwa mabega
Olw’ekirwadde kya Covid-19 emikolo gy’amattikira ga Ssabasajja Kabaka wa Buganda ag’emirundi 28 gikuziddwa mu ngeri etali yabulijjo era abantu batono ddala ab’etabye ku mikolo gino egibadde mu lubiri lw’e Nkoni mu Buddu. Ab’e ssaza ly’e Buruuli tebagadde kuyitwako mattikira kwekwekolerawo enteekateeka eyabwe ku lubiri lwa kabaka mu sazza lyabwe. Bano bafunye ekifananyi kya Ssabasajja n’ekya Nnabagereka n’ebatyabula amazina nga kwotadde okweyala mu maaso gabyo okulaga essanyu.