OKUKOMYAWO SAM MUGUMYA: Besigye agamba bali mu kukola ku mpapula ze
DR. Kiiza Besigye, agamba nti waliwo enteekateeka ez’okukola ku biwandiiko ebinaasobozesa eyali omuyambi we Sam Mugumya okudda kuno, ono ababdde amaze kumpi emyaka 8 nga yasibibwa mu ggwanga lya DR Congo. Entegeka eno bwenaaba ewedde Mugumya wakudda kuno. Mugumya yateebwa kunkomerero ya wiiki ewedde nga yali avunaanibwa okuyingira mu ggwanga lya DR Congo mu bukyamu. Twogeddeko ne DR. Besigye ku nsonga ez’enjawulo ezigenda mu maaso mu ggwanga.