OKUKOMOLA ABAKAZI N’ABAWALA: E Sebei kati bakikola beekukumye olw’amateeka
Mu mwaka gwa 2010, waliwo ebbago elyafuulibwa etteeka nga likuguira obuwangwa bw'okukomola abakazi na ddala mu ttundutundu ly'e Sebei. Newankubadde abalwanirira eddembe ly'obuntu kino kyabasanyusa nnyo, obweraliikirirvu bwolekedde okuddamu ku nsonga eno, kubanga kati abawala betwala bokka mu bantu abakomola era omulimu guno gukolebwa mu bubba. Tekimanyiddwa oba nga kiva ku butamanya kubanga n'abakulembeze abagezezzaako okutekeesa etteeka lino mu nkola balabika nga abalemereddwa.