OKUJJUKIRA OLUNAKU LW’ABAKYALA: Wuuno Dr Atukunda eyeenyigira mu kulwanyisa COVID-19
Wiiki ejja ku Mande nga 8 March, tugenda kukuza olunaku lw’abakyala olw’omwaka gunno. Ebikujjuko bino byakutambulira ku mulamwa ogugamba nti ssalawo osoomooze ebisoomooza. Mu kwetegekera olunaku luno, tukuletedde emboozi ya Dr. Angella Atukunda omu ku basawo abewaayo okwegaanga ekirwadde kya COVID 19 ng’atubuulira embeera gyeyatimu.