OKUFUUZA OBUMENYI BW’AMATEEKA: Poliiisi y’e Iganga ekoze ekikwekweto, eriko b’ekutte
Poliisi mu district y’e Iganga ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde abavubuka 4 ssaako n’okusaanyawo obufo bw’omu ghetto obubadde bumaamirwa abantu abalowoozebwa okuba abamenyi b’amateeka. Ekikwekweto kigendereddwamu okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka obubadde bususse ku kyalo Buseyi ku njegooyego z’ekibuga Iganga.