Okubuza endagamuntu; abazironda bazikoseza ebyabwe nga tomanyi
Omanyi ekiyinza okutuukawo singa Endagamuntu eyo ekugwako omuntu omulala n'agironda n'agyeyambisa mu ngeri menya amateeka? Wuuno omuvubuka amaze ebbanga nga avunaanwa by’atamanyi olw’abantu abaddira endagamuntu eyamugwako ne bagikozesa okuggulawo kampuni egambibwa okufera abantu ensimbi ezisukka mu buwumbi 3 mu bitundu by’e Bugiri. Okubulwako endagamuntu kwamutuusa n’okugombebwamu obwala ku kisaawe ky’ennyonyi nga agenda okukuba ekyeyo, era mu kiseera kino akyawerennemba na misango egitaggwa.