OKUBUMBULUKUKA KW'ETTAKA; E Bulambuli waliwo ababuutikiddwa ettaka
Waliwo amawulire agooleka nga bwewabaddewo okubumbulukuka kwettaka mu Ggombolola ye Buluganya mu Distulikiti ye Bulambuli. Agatanakakasibwa bulungi galaga nti waliwo abalumiziddwa kabe kasinge n'okufa . Omwogezi w'ekitongole kya Redcross ekisindiseyo abantu okudduukirira aliko byatubuulidde.