OGW’OKULYA ENGUZI: Wangadya awadde obujulizi ku babaka abavunaanibwa
Akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu ggwanga Mariam Wangadya awadde obujulizi ku babaka Yusuf Mutembule, Paul Akamba ne Cissy Namujju abaleeteddwa olwaleero mu kkooti enkulu batandike okuwozesebwa emisango egyekuusa ku buli bw’enguzi .Abasatu bano emisango bagyegaanye mu maaso g’omulamuzi Lawrence Gidudu .