Obwakabaka buwakanyizza alipoota ku ttaka ly’e Kaazi nti nkyamu
Oluvannyuma lwa minisita Sam Mayanja okutegeeza nga ettaka ly’e Kaazi bwe litabangako lya Bwakabaka era n’alagira n’ekyapa kyalyo ekyakolebwa aba Buganda Land Board Okusazibwamu, bwakabaka bwa Buganda bufulumizza ekiwandiiko ekiggyayo gy’envudde w’ettaka ly’e lino okukakasa ensi nti ettaka lino lya Kabaka. Ekiwandiiko kitegeeza bansansi okwewala okuwubisibwa abo abagamba nti ettaka lino si lya Kabaka.