Obuwanguzi bwa Mufti Mubajje, abawagizi be basiibye mu mataaliObuwanguzi bwa Mufti Mubajje, abawagizi be basiibye mu mataali
Kkooti enkulu mu Kampala egobye omusango Abasiramu gwe baatwalayo nga bawakanya obukulembeze bwa Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje.Abatwala Sheikh Mubajje ne banne abalala 43 mu kkooti baali balumiriza olukiiko olwamulonda okuyisa olugaayu mu Ssemateeka W’obusiraamu mu kuddamu okumuwa obuyinza.Omulamuzi Bernard Namanya abadde mu musango guno asabye abawaabi bakozese emiwaatwa gy’eddiini okugonjoola ensonga zaabwe.