OBUMENYI BW’AMATEEKA E KAMPALA: Ababbira ku ppikipiki baliko gwe bamenye eggumba
Ebyokwerinda by'abantu abatambuza ebigere ku nguudo z'ekibuga Kampala nnyingi birabika nga tebimatiza bulungi, oluvannyuma lwa bangi okulumbibwa nebakubibwa n'okubbibwako ebyabwe. Abantu abakola bino, baba batambulira ku ppikippiki. Queens Lane ku Buganda Road, ky'ekimu ku bifo ebyo eby'ongedde okubeera eby'obulabe eri abatambuza ebigere. Abdallah Mugerwa y'omu ku bantu abalumbiddwa mu kimu ku bifo ku luguudo luno nga wetwogerera bino, nga ono yamenyeka n'okuggulu.