OBUMBAGANYI KU POLIISI YE BUSIIKA : Bbana basimbiddwa mu kkooti
Abantu bana basimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road nebaggulwako emisango gyokugezaako okulumba mmotokka z'omulamuzi omukulu oba Principle judge Flavian Zeija', okutta aba poliisi basatu ku Poliisi ye Busiika , saako abantu babulijjo abaweerako nga kwossa n'okubba emmundu . Abana bano kuliko Moses Katende , Faisal Musana , Abudallatif Balikoowa ne Adam weduma . Bano bakola mirimu omuli okusiika chapati, obutembeeyi n'obusubuuzi obulala obwa lejjalejja . Oludda oluwaabi lugamba nti abana bano n'abalala abatanakwatibwa nga 31 october omwaka oguwedde balumba Poliisi ye Busiika mu disitulikiti ye Luweero nebatta aba poliisi basatu , omwali Alex Wagaruka, Moses Ongon ne Steven Odama .
Bano bagambibwa okuba nga bazza emisango emirala omuli okutta abantu mu disitulikiti endala omu Mpigi mu bitundu bye Mitala Maria , so nga ettemu ddala lyali mu bitundu omuli Lusaze , Kasokoso ne Butambala.
Omulamuzi Asuman Muhumuza bano abalabudde obutabaako kyeboogera kubanga emisangoe gibavunaanibwa gya Naggomola egiwulirizibwa kkooti enkulu . Bakudda mu kkooti nga 31st January nga bakugasimbagana n'omulamuzi omukulu owa kkooti eno Sarah Tusiime .