Obukulembeze bwa Mubajje, okuwulira omusango ogubuwakanya kutandise
Kkooti enkulu olwaleero lw’etandise okuwuliriza omusango gw'abasiraamu abawawaabira Sheik Shaban Mubajje nga bawakanya okulondebwa kwe ku bwa Mufuti wa Uganda omwaka guno.Bano balumiriza olukiiko olwalonda Mubajje okuyisa olugaayu mu Ssebateeka w'obusiraamu nga balonda obukulembeze obujja.Oludda oluwaabi lulagiddwa okuwayo ensonga zaalwo lwaki luwakanya obukulembeze buno nabo kyebakoze nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe Kizito Farouk.Kyokka lwo oludda oluwawaabirwa bweruragiddwa okwewozaako lusabye omulamuzi okubawaayo akadde basobole okwetegereza n'okusengeka enewozaako yaabwe.Kati omulamuzi Benard Namanya ataddeko olwa nga 10 wiiki ejja okuddamu okuwuliriza omusango guno.