NUP etaddewo akakiiko okunoonyereza kuby'okutunda kaadi z’ekibiina
Ekibiina ki NUP kitaddewo akakiiko ak’enjawulo okunoonyereza ku bantu abagambibwa okweyingiza mu mirimu gy’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina. Akakiiko kano ak’abantu abana, okuteekebwawo kiddiridde amaloboozi agabadde gatandise okuwulirwa okuva mu bamu ku bavuganya nga baliko bebalumiriza okutaataganya okusunsula kw’abo abaagala okukwatira ekibiina bendera ku bifo eby’enjawulo.