Ntare school egobye abayizi 205 lwa kwonoona bintu
Abakulira essomero lya Ntare School mu disitulikiti y’e Mbarara bawaliriziddwa okugoba abayizi bonna mu ssiniya ey’omukaaga (S.6) okumala ebbanga elitali ggere oluvannyuma lw’okwekalakaasa nebonoona ebintu by’essomero. Abayizi abagobeddwa bali 205 ng’okusinziira ku akulira essomero lino Saul Rwampororo ekyajje abayizi bano mu mbeera kwekugobwa kwa bannaabwe abaasangiddwa n’essimu ekintu ekimenya amateeka g’essomero lino.