MWONOONA EKITIIBWA KYA BUGANDA: Mpuuga aloopye abakulembeze mu Buganda e Mbuga
Kamiisona wa Palamenti era omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga alaze obw’ennyamivu olw’engeri abakulembeze mu kitundu kya Buganda gye bakwatamu ensonga gy’agambye nti eweebuula obwakabaka n’okutattana ekitiibwa ky’abakulembeze mu kitundu kino.Mpuuga abaddde akulembeddemu ekibinja kya bannamasaka abakedde okugenyiwalako e Bulange Mengo okugula emijoozi gy’emisinde gya Kabaka egya Kabaka Birthday Run.Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde abakulembeze okukomya okusalawo ensonga mu busungu n’abasaba beemanyiize enkola ey’okukkaanya nga waliwo ebisobye.